Proverbs 6

Okulabula ku Butamanya n’Obusirusiru

1 aMutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo,
ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
2Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera,
ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,
3kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya,
kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo:
Yanguwa, ogende weetoowaze,
weegayirire muliraanwa wo.
4 bAmaaso go togaganya kwebaka,
wadde ebikowe byo okubongoota.
5 cOnunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi,
era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.

6 dYigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
7Tebirina mukulembeze,
mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
8 ekyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.

9 fOlituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 gOtulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
11 hobwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.

Okulabula eri Omuntu Omutabuzitabuzi

12Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi
agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
13 iagenda atemyatemya ku liiso,
nga bw’akuba ebigere
ate nga bw’asongasonga olunwe,
14 jolw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi,
bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
15 kNoolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo,
mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.

Okulabula ku Bibi Omusanvu

16Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa,
weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.
17 lAmaaso ag’amalala,
emimwa egirimba,
okuttira abantu obwereere;
18 momutima ogutegeka okukola ebibi,
ebigere ebyanguwa okukola ebibi,
19 nobujulizi obw’obulimba,
n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.

Okulabula Ku Bwenzi

20 oMwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21 pBisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23 qKubanga amateeka ttabaaza,
era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
ly’ekkubo ery’obulamu,
24 rokukuwonya omukazi ow’ebibi,
okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26 skubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
ebyambalo bye ne bitaggya?
28Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
ebigere bye ne bitasiriira?
29 tBwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,
buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.

30Abantu tebasekerera muntu bw’abba,
olw’okwewonya enjala.
31 uNaye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu;
ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
32 vNaye buli ayenda ku mukazi talina magezi;
kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
33 wAlifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;
n’obuswavu tebulimusangulibwako.

34 xKubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira,
era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.
35 yTalikkiriza mutango gwonna,
wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.
Copyright information for LugEEEE